The Phaneroo Devotion: Of Stability

Apostle Grace Lubega 

Ephesians 4:14(KJV); That we henceforth be no more children, tossed to and fro, and carried about with every wind of doctrine, by the sleight of men, and cunning craftiness, whereby they lie in wait to deceive;

Some Christians are victims of the winds of doctrine. They struggle with things like disease, poverty and all forms of affliction because of doctrine.

The Bible describes their experiences as being tossed to and fro.

These are people who listen to one preacher declare that disease is a present-day reality and they are not immune to it and excitedly say ‘Amen!’ When they are told that divine health is their portion and that by the Lord’s stripes they are healed, they say, “Amen!”

When one preacher tells them that they have generational curses that must be broken, they shout “Amen!” When another tells them that they are new creatures in Christ, the old is passed away and the new is come, they still shout “Amen!”

You cannot grow faith with such instability!

Winds of doctrine are the reason why there are so many weak Christians.

In Isaiah 33:6, the Bible says, “And wisdom and knowledge shall be the stability of the times and strength of salvation.” You cannot be unstable in doctrine and expect to be strong in salvation.

This is why you must be careful who you feed from and who is your shepherd. You must have the wisdom to discern what is present truth and what is not; what teaching alienates you from the nature that you share with God and what reveals that nature.

Hallelujah!

FURTHER STUDY: Hebrews 13:9, 2 Timothy 4:3

GOLDEN NUGGET: You cannot be unstable in doctrine and expect to be strong in salvation. This is why you must be careful who you feed from and who is your shepherd. You must have the wisdom to discern what is present truth and what is not; what teaching alienates you from the nature that you share with God and what reveals that nature.

PRAYER: Father, I thank You for this truth. My eyes are opened to the wisdom that discerns true teaching. I mature in the understanding of what I must feed on and to whom I must listen. In this knowledge, I grow in truth. In Jesus’ name, Amen.

EKY’OKUNYWEZEBWA

Omutume Grace Lubega

Abaefeeso 4:14(KJV); tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey’okuyigiriza, mu bukuusa bw’abantu, mu nkwe, olw’okugoberera okuteesa okw’obulimba;

Abakrisitaayo abamu bakosefu mu bulamu, olw’emiyaga gy’enjigiriza. Balafuubana n’ebintu nga endwadde, obwavu era n’engeri zonna ez’okubonaabona olw’enjigiriza ezimu ze basembezezza.

Baibuli erambulula embeera ze bayitamu ng’ezinnyonnyola ng’okutwalibwa eno n’eri.

Bano be bantu abawuliriza omubuulizi omu ng’alangirira nti endwadde kintu kya bulijjo era nti tebagemeddwa kuva gye ziri era mu kukyamuukirira ne bakatyemula nti ‘Amiina!’. Bwe bagambibwa nti obulamu obw’obwa Katonda obutalwala mugabo gwabwe era nti olw’emiggo egyakubwa Mukama bawonyezebwa, era ne basaakanya nti, “Amiina!”

Omubuulizi w’enjiri omu bw’abagamba nti balina ebikolimo bya ba jjajja baabwe ebiteekeddwa okumenyebwa nga baleekaanira waggulu nti “Amiina!” Ate omulala bw’abagamba nti bali bitonde biggya mu Kristo, ebikadde nga biweddewo laba ebintu byonna bifuuse biggya, era n’awo nga baleekaanira waggulu nti “Amiina!”

Tosobola kukuza kukkiriza ng’oli matankane bwotyo!

Emiyaga gy’enjigiriza y’ensonga lwaki waliwo abakristaayo bangi abanafu.

Mu Isaaya 33:6, Baibuli egamba, “Era yaliba omusingi omugumu mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n’okumanya, okutya Mukama bwe bugagga bwe”. Tosobola kuba nga tonywedde mu njigiriza era n’osuubira okubeera ow’amaanyi mu bulokozi.

Eno y’ensonga lwaki olina okufaayo ennyo ani akuliisa era ani musumba wo. Olina okubeera n’amagezi okwawula amazima aga kaakati era n’ago agatali; njigiriza ki ekwawula okuva eri embala gy’ogabana ne Katonda n’eyo ebikkula embala eyo.

Alleluya!

YONGERA OSOME: Abaebbulaniya 13:9, 2 Timoseewo 4:3

AKASUMBI KA ZAABU : Tosobola kuba nga tonywedde mu njigiriza era n’osuubira okubeera ow’amaanyi mu bulokozi.  Eno y’ensonga lwaki olina okufaayo ennyo eri ani akuliisa era ani musumba wo. Olina okubeera n’amagezi okwawula amazima aga kaakati era n’ago agatali; njigiriza ki ekwawula okuva eri embala gy’ogabana ne Katonda n’eyo ebikkula embala eyo.

ESSAALA : Kitange, nkwebaza ku lw’amazima gano. Amaaso gange gabikkuddwa eri amagezi agaawula enjigiriza ey’amazima. Nkula mu kutegeera okwa kki  kye nnina okulya era n’ani gwe nnina okuwuliriza. Mu kumanya kuno, nkula mu mazima. Mu linnya erya Yesu, Amiina.

Translate »
  • AUDIO SERMONS
  • CONTACT US